OLUYIMBA OLW’AMAYINGIRA Sap. 11, 24 – 25, 27
Ayi Mukama, bonna obakwatirwa ekisa, byonna bye wakola mpaawo ky’okyawa: ofaanana obutamanya bibi bya bantu: kasita wabaawo okubonerera n’obisonyiwa, anti ggwe Mukama Katonda waffe.
ESSOMO I
Muyuze emitima gyammwe naye si byambalo byammwe.
Bye tusoma mu kitabo kya Yoeli Omulanzi (2,12 – 15)
Omukama agamba, nti: Mukyukire gye ndi n’omutima gwammwe gwonna nga musiiba, nga mukaaba, nga musindogoma. Muyuze emitima gyammwe naye si byambalo byammwe, mukomewo eri Omukama Katonda wammwe, kuba si mukalubo, asaasira, agumiikiriza, wa kisa kingi, yeetegese okumala ekibi amangu. Ani amanyi, oba oli awo ne yeddamu, n’asonyiwa n’aleka emabega we omukisa, ekitambiro n’ebiweerezebwa Omukama Katonda wammwe? Mufuuwe engombe mu Siyoni, musseewo ekisiibo, muyite ekibiina, mukungaanye abantu, musseewo olukungaana; mukunngaanye abakadde, mukunnganye abato n’abakyali ku mabeere. Omusajja omufumbo ave ku kitanda kye n’omukazi omufumbo akireke eri; abasaserdoti, abaweereza b’Omukama wakati w’ekifugi n’omwaliiro we balikaabira nga bagamba, nti: Saasira ayi Mukama, saasira ekibiina kyo; obusika bwo tobuleka kuswazibwa, toleka mawanga kubufuga, nabo kwogera mu bantu, nti: Katonda waabwe aluwa? Omukama omwoyo gw’ensi ye gumulumye, asaasidde eggwanga lye! Omukama ayanukudde n’agamba eggwanga lye, nti: Kale nze nja kubasindiikira engano n’eviinni n’omuzigo, bibayitirire n’obungi. Ebyo Omukama y’abyogera.
OLUYIMBA OLW’OKWEBUULIRIRA: Zab 50, 3 – 4, 5 – 6a, 12 – 13, 14 + 17
EKIDDIBWAMU:Ayi Mukama, tusaasire, kubanga tuli boonoonyi.
Ayi katonda nsaasira ng’ekisa kyo bwe kiri, olw’okusaasira kwo okungi, sangulawo ekyonoono kyange. * Naalizaako ddala omusango gwange era ontukuzeeko ekibi kyange. Ekidd.
Anti ekyonoono kyange nze nkikkiriza ekibi kyange bulijjo sikiggyaako liiso. *Ggwe wekka gwe nnakola ekibi, ekiba ekibi mu maaso go kye nnakola. Ekidd.
Ntondamu omutima omutukuvu, ayi Katonda, ozze buto mu nze, omwoyo omugumu. *Tonzigyanga mu maaso go kunkasuka eri, n’omwoyo gw’omutuukirivu togunzigyako. Ekidd.
Nziriza essanyu ery’obulokofu bwo, onkakase mu mwoyo ogwewaayo. *Ayi Mukama emimwa gyange oligyasamya, n’akamwa kange kalimanyisa ettendo lyo. Ekidd.
ESSOMO II
Mutabagane ne Katonda …. buno bwe budde obusaanye.
Bye tusoma mu bbaluwa eyookubiri Paulo Omutume gye yawandiikira ab’e Korinti. (5, 20 – 6, 2)
Abooluganda, tuli babaka ba Kristu nno. Kyenkana Katonda y’ayogera gye muli ng’ayita mu ffe. Ate kye tubakubiriza mu linnya lya Kristu kye kino: Mutabagane ne Katonda. Olw’okubeera ffe Katonda yaddira ataliiko kibi n’afuuka ekibi, ffe mu ye tusobole okufuuka obutuufu bwa Katonda. Kale nno nga bwe tukolera awamu naye, tuddamu okubakubiriza, muleme kugayaalirira nneema gye mwafuna. Anti agamba nti: Nnakuwulira mu budde obusaanye, ne nkuyamba mu lunaku olw’okulokoka. Kale nno buno bwe budde obusaanye, zino ze nnaku ez’okulokoka. Ebyo Omukama y’abyogera.
OKWANIRIZA EVANJIRI
Ntondamu omutima omutukuvu, ayi Mukama, nzikiriza essanyu ery’obulokofu bwo!
EVANJIRI
Kitaawo alaba eby’ekyama, alikuddiza.
Ebigambo by’Evanjiri ya Mukama waffe Yezu Kristu ebivudde mu Matayo. (6, 1 – 6)
Mu budde buli Yezu yagamba abayigirizwa be, nti Mwekkaanyenga, ebikolwa ebirungi timubikolanga mu maaso g’abantu nga mugoberera babalabe; kubanga bwe mukola mutyo, timugenda kufuna mpeera ewa Kitammwe ali mu ggulu. Awo nno ggwe bw’obanga ogaba, tokulembezanga kkondeere erigenda livuga ng’abakuusa bwe bakola mu sinagoga ne mu nguudo, nga baagala abantu babawe ekitiibwa. Mazima mbagamba nti: Empeera yaabwe bagifunye. Naye ggwe bw’ogabanga, omukono gwo ogwa kkono guleme kumanya gwa ddyo kye gukoze. Ky’ogabye kibeere kya kyama; ye kitaawo alaba eby’ekyama alikuddiza. Bwe mubanga mwegayirira, timubeeranga ng’abakuusa abaagala okwegayirira nga bayimiridde mu sinagoga ne mu bulikonda bw’embuga, abantu balyoke babalabe. Bwe musiibanga, timwefuulanga ng’abakuusa bwe bakola; bafumyafumya amaaso gaabwe abantu balyoke babalabe nti: basiiba; ka mbabuulire, empeera eyaabwe bagifunye. Ggwe bw’osiibanga, omutwe gwo ogusiiganga omuzigo, amaaso go n’oganaaba, abantu baleme kukulaba nti: osiiba; Kitaawo ali mu nkiso ye aba akulaba; Oyo Kitaawo alaba mu nsiko, alikuweera. Ebyo Omukama y’abyogera.