Akalowoozo ku Lwokutaano olutukuvu (10th April 2020)

Kabona gwe tulina amanyi ennaku zaffe.

Abantu ba Katonda abaagalwa olwaleero amaaso n’ebirowoozo byaffe bisimbye ku Musaalaba Yezu kwe yakomererwa, kwe yeetikkira ebibi byaffe era kwe yawangulira omulabe w’obulamu bwaffe. Ku Musaalaba guno kw’atuukiririza ekyo ekyamuleeta ku nsi; anti gwe gufuuka entebe y’Obwakabaka ate era nga Kabona omukulu n’aweereza Katonda Kitaawe ekitambiro ekyamutabaganya n’ensi. Byonna bituukirira ku Musaalaba nati nga tannawaayo Mwoyo gwe eri Katonda yagamba nti: ‘Kitange kituukiridde’ Kabona waffe ono eyayita mu kubonaabona, okufa, okugayibwa, okuswazibwa, okweganiibwa n’okujolongebwa leero y’atuweebwa tumutunuleko, tumulabireko, tumuyigireko ate tumugoberere mu lugendo lwaffe nga tumenyeka n’emisaalaba gyaffe wamma gwe taaleme kutuwanguza nga ye bwe yawangula.

Abooluganda bingi ebitweraalikiriza, bingi ebitulumya omwoyo. Bingi ebitubuza otulo; mu nsangi zino tulina obulwadde bwa corona, emirimo gyesibye, obwavu, enjala n’ebirala byonna bitulumbaganye; tetumanyi ddi embeera lw’eneetereera. Mu mbeera ng’eno omuwandiisi w’ebbaluwa y’Abebreyi atuyamba okusimba amaaso gaffe ku Kabona – Yezu yennyini eyalaba ennaku eya buli kika wadde nga ye teyalina kibi naye n’asobola okuwangula byonna. Mu Ye era nga tuli naye naffe tusobola okuguma era n’obutaggwaamu ssuubi.

Mu lugendo lw’obukristu nga tugoberera Kristu, olunaku lwe tukuza leero lutulaga kaati nti omusaalaba tetusobola kugudduka wadde okugwewala. Omusaalaba tuteekwa okugwetikka naye ng’ekikulu ssi musaalaba naye kwe kuba nga tulina obwesige mu Katonda. Nti ne mu mbeera enkalubo asigale nga ye Mukama, nga ge maanyi gaffe era n’eddembe lyaffe. Yezu ng’alagira Petro mu bw’omuntu eyalowooza nti amulwanirako, yamubuuza nti: ‘Endeku Kitange gy’ampadde ogamba siiginywe?’ Laba obumalirivu obwo! Ssi kugamba nti Yezu teyalumwa, mu butuufu kuba Katonda ddala era omuntu ddala, mu bw’omuntu yalumwa naye okukkiriza n’essuubi lye okuba mu Katonda byonna yabigumira bw’atyo n’asobola okuwangula.

Tulina kabona amanyi ennaku yaffe. Twefumiitirize ku bannaffe abalwadde, abanyigirizibwa, abeerabiddwa, abanjolongebwa, abapaatikiddwako ebisangosango, abaswazibwa n’ebikolobero ebirala ebikolebwa naddala abo abeesambye amazima. Kabona ono Yezu olowooza mu mbeera zaffe nga zino atugamba ki!! Tulowoolereze ku batusuubizza okuyimirira naffe mu mbeera zonna naye obuzibu bwe bujja ne batukuba amabega. Barabba omutemu yawonyezebwa ate Yezu atalina musango n’afa. Kino kituyigiriza ki naddala mu bulamu bwaffe nga tunyigirizibwa? Tetugwanye kutunuulira nnyo Kabona oyo atuweereddwa?

Abooluganda abaagalwa naffe tusoomoozebwa naddala mu nsi yaffe oluusi ekyaye amazima. Mirundi mingi ayogera ekituufu oba alambika amazima bamuyita mussiru, mujega oba oyo atatambula na mulembe era omuntu atajja kukulaakulana. Laba abasaakiiriza Yezu attibwe bwe bafuntyanka amazima! Pilato omukulembeze amazima agamanyi naye olw’okwagala okukuuma ekifo n’obuganzi bwe eri abantu alemwa okusala amazima. Nze nnaawe abooluganda tuli tutya mu nnamula yaffe? Ebyaffe bye twagala ebitukolera ebitukuumira mu buyinza, mu bulamu mu bugagga, mu buganzi naffe mirundi mingi ssi bye tukulembeza? Tujjukire nti tuli bakristu, wadde tuli mu nsi naye tetuli bansi; ensi tuteekeddwa okugyeyamba okuwangula eggulu. Yezu kye yava agamba Pilato nti: Ssinga obwakabaka bwange bubadde bwa mu nsi muno eggye lyange teryandiremye kujja kunnwanirira. Ensi, nze nnaawe tugyeyamba tutya? Abamu etusiikiriza n’eba ng’enkomerero y’okubeerawo kwaffe.

Tulina Kabona, wadde yali Katonda mu bye yayitamu byonna ekitiibwa kye eky’obwakabaka kyavaayo ng’alengejjera ku musaalaba. Laba bw’awambaatira ensi yonna nga Kabaka ku Kalvario! Ebibye byonna abivaamu, obulamu, engoye n’ebitiibwa ffenna n’atujjuza bwatyo obulamu. Mu kwetowaza n’obuwulize, ku muti ogw’omusaalaba Yezu kw’afuukira ekibala ekiwa bonna obulamu.

Tuleme kutya musaalaba naye tube n’okukkiriza mu Katonda oyo eyatuwagulira ekibi n’olumbe. Tube nga Nikodemo awamu ne Yozefu ow’e Arimatea; ebyo byonna ebitiisa ebyaliwo tebyabalobera kusaba mubiri gwa Yezu n’okuguziika mu kitiibwa. Baamwoleka okwagala. Abangi bayinza okutukyayisa omusaalaba oba olyawo n’okutulowoozesa nti tebisoboka; naye era wabaawo n’abatono abalemerako anti ekkumi bulijjo terikyawa omu. Tuleme kuterebuka. Ku musaalaba era na kati Yezu ennyonta emuluma. Ennyonta ssi ya nkaatu yadde evviini oba amazzi, NEDDA; Naye ya myoyo gyaffe na bulamu bwaffe ko n’obulokofu bwaffe. Ka naffe twekwate omuzadde Maria oyo gwe yatuweera wansi w’omusaalaba okubeera nnyaffe atuyigirize okwagala omusaalaba ate n’okweyunanga Omwana we oyo ensulo y’enneema n’obulamu avubirize ennyonta y’obulamu bwaffe obw’omwoyo ate n’omubiri.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *