Olunaku Lwo’mukama 6 MU Mazukila nga 26TH MAY 2019 Oluyimba Olwamayimgira Yiz 48, 20

Mulangirire ekigambo eky’essanyu, kiwulirwe. Mulangirire okutuuka ensi gy’ekoma, nti: Omukama yawonya eggwanga lye, alleluya.

ESSOMO I
Mwoyo Mutuukirivu ky’asazeewo, naffe kye tulabye: siwali kibateesaako buzito bulala wazira ebitalekeka.

Bye tusoma mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume. (15, 1 – 2. 22 – 29)
Mu budde buli wajjawo abamu nga bava mu Buyudaaya, ne bayigiriza abooluganda, nti: Bwe mutatayirirwa nga Musa bwe yalagira, timuyinza kulokoka. Paulo ne Barnaba bwe baabawakanya ennyo, ne bateesa Paulo ne Barnaba na bali ab’oku ludda olulala bambukeko e Yeruzalemu eri abatume n’abasaserdooti, boogere ku kigambo kino. Abatume n’Abakulu mu kibiina ne basalawo kino: okulonda mu bo abasajja, babatume mu Antiokia, bagende ne Paulo. Be bano: Yuda ayitibwa Barsabas, ne Silasi, abasajja abakulu mu booluganda. Ne babakwasa ebbaluwa eno, nti: Abatume n’Abakulu abooluganda, tuwandiikidde abooluganda bannamawanga abali mu Antiokia, ne mu Syria ne mu Silisia, nga tubalamusa. Twawulira ng’abamu mu ffe babeeraliikiriza olw’ebigambo bye boogera, ne batabangula emyoyo gyammwe, sso nga titubalagiranga. Bwe tukungaanye, ne tulaba nga kirungi okulonda abasajja n’okubabasindikira, wamu ne bannaffe abaagalwa ennyo Barnaba ne Paulo, abasajja abaawaayo obulamu bwabwe okubeera erinnya lya Mukama waffe Yezu Kristu. Tubatumidde ne Yuda ne Silasi; abo be banaabibabuulira n’akamwa. Kubanga Mwoyo Mutuukirivu ky’asazeewo, naffe kye tulabye, nti: Siwali nsonga ebateesaako buzito bulala, wazira bino ebitalekeka: Mwesammule bye batambiridde balubaale, n’omusaayi, n’ensolo entuge era n’obwenzi. Ebyo Omukama y’abyogera.

OLUYIMBA OLW’OKWEBUULIRIRA: Zab. 66, 2 – 3. 5. 6 – 8
EKIDDIBWAMU: Amawanga gakugulumize, ayi Katonda (oba) Alleluya.

Katonda atusaasire, atuwe omukisa, atwolese ekisa ku maaso. *Bamanye mu nsi ekkubo lye, mu mawanga wonna obulokozi bwe. Ekidd.

Amawanga gasanyuke era gajaganye. *Kubanga obafuga mu bwenkanya n’amawanga n’ogatereeza. Ekidd.

Abantu bakugulumize ayi Katonda, bakugulumize abantu bonna. *Katonda atuwe omukisa, enkingi z’ensi zonna zimutya. Ekidd.

ESSOMO II
Yatulaga ekibuga ekitukuvu nga kiva mu ggulu.

Bye tusoma mu kitabo ky’Okubikkulirwa(21, 10 – 14. 22 – 23)
Malayika ng’alinga ansitudde, y’antwala ku lusozi olunene oluwanvu, n’annengeza ekibuga ekitukuvu, Yeruzalimu, nga kikka, kiva mu ggulu ewa Katonda, nga kirina okwakaayakana okwa Katonda ekitangaala kyakyo nga kiri ng’eky’ejjinja eryomuwendo lye bayita jaspido, oba ng’ejjinja ettangaavu. Kyali kirina ekigo ekinene, ekiwanvu, nga kuliko emiryango kkumi n’ebiri okuli bamalayika kkumi na babiri, n’amannya amawandiike ag’ebika ekkumi n’ebibiri eby’abaana ba Yisraeli. Ebuvanjuba ng’eriyo emiryango esatu, n’emambuka emiryango esatu n’emaserengeta emiryango esatu, n’ebugwanjuba emiryango esatu. Ekigo ky’ekibuga nga kitudde ku mayinja kkumi n’abiri ag’omu musingi, ku buli limu nga kuliko erinnya ery’omu ku Batume ekkumi n’ababiri ab’Akaliga. Saalabamu Kiggwa, kuba Omukama Katonda, nannyini byonna, ky’ekiggwa kyamu, era n’Akaliga. Tikyetaaga njuba nandibadde omwezi okukyakiramu; kuba okutangalijja kwa Katonda kwe kukitangaaza; ate Akaliga y’ettawaaza yaamu. Ebyo Omukama y’abyogera.

OKWANIRIZA EVANJIRI
Alleluya. Oli anjagala talema kukwata kigambo kyange, Omukama bw’agamba. Kitange talirema kumwagala, n’okujja tulijja gy’ali ne tumutebenkeramu. Alleluya.

EVANJIRI
Mwoyo Mutuukirivu alibayigiriza byonna bye nnabagamba.

Ebigambo by’Evanjiri ya Mukama waffe Yezu Kristu ebivudde mu Yoanna. (14, 23 – 29)
Mu budde buli Yezu yagamba abayigirizwa be nti Oli anjagala talema kukwata kigambo kyange, ne Kitange talirema kumwagala; n’okujja tulijja gy’ali ne tumutebenkeramu. Atanjagala, ebigambo byange tabikwata. Sso ekigambo kye mwawulira si kyange ku bwange, wabula kya Kitange oli eyantuma. Ebyo mbibabuuulidde nga nkyali nammwe. Naye omuwolereza ye Mwoyo Mutuukirivu Kitange gw’alituma mu linnya lyange, alibayigiriza byonna n’abajjukiza byonna bye nnabagamba. Mbalekedde emirembe, mbawadde emirembe gyange; sigibawadde ng’ensi bw’egiwa. Omutima gwammwe gulekenga kweraliikirira na kutya. Muwulidde nga bwe mbagambye nti: Ngenda ate nzira gye muli. Singa mubadde munjagala, ggwe wamma mwandisanyuse, kubanga ngenda eri Kitange; anti Kitange y’ansinga obukulu. Kale nno ekyo nkibagambye tikinnatuuka; bwe kirituuka, mulyoke mukkirize. Ebyo Omukama y’abyogera.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *