Abavubuka mwenna mu ssaza ekkulu ery’e Kampala muyitibwa e Kiwamirembe ku lw’omukaaga luno nga 18th May 2019 okubeerawo ku lunaku lwaffe olw’essaza olw’okulamaga n’okwegayirira ewa Maama Maria.
Tujja kutandika ku ssaawa bbiri ezokumakya (8.00am).Tulibeera n’okutendeereza n’okusinza, okuyigirizibwa ku Bikira Maria, ssappule, okwejjusa wamu n’emmisa.
Awulidde ategeeze munne.
Theme:
Nze nzuuno omuzaana w’Omukama, kikolebwe nga bw’ogambye.
Rev. Fr. Joseph Luzindana
Archdiocesan Youth Chaplain