Main Menu

May, 2019

 

Olunaku Lwo’mukama 6 MU Mazukila nga 26TH MAY 2019 Oluyimba Olwamayimgira Yiz 48, 20

Mulangirire ekigambo eky’essanyu, kiwulirwe. Mulangirire okutuuka ensi gy’ekoma, nti: Omukama yawonya eggwanga lye, alleluya. ESSOMO I Mwoyo Mutuukirivu ky’asazeewo, naffe kye tulabye: siwali kibateesaako buzito bulala wazira ebitalekeka. Bye tusoma mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume. (15, 1 – 2. 22 – 29) Mu budde buli wajjawo abamu nga bava mu Buyudaaya, ne bayigiriza abooluganda, nti: Bwe mutatayirirwa nga Musa bwe yalagira, timuyinza kulokoka. Paulo ne Barnaba bwe baabawakanya ennyo, ne bateesa Paulo ne Barnaba na bali ab’oku ludda olulala bambukeko e Yeruzalemu eri abatume n’abasaserdooti, boogere ku kigambo kino. Abatume n’AbakuluRead More


Invitation To Kiwamirembe Pilgrimage

Abavubuka mwenna mu ssaza ekkulu ery’e Kampala muyitibwa e Kiwamirembe ku lw’omukaaga luno nga 18th May 2019 okubeerawo ku lunaku lwaffe olw’essaza olw’okulamaga n’okwegayirira ewa Maama Maria. Tujja kutandika ku ssaawa bbiri ezokumakya (8.00am).Tulibeera n’okutendeereza n’okusinza, okuyigirizibwa ku Bikira Maria, ssappule, okwejjusa wamu n’emmisa. Awulidde ategeeze munne. Theme: Nze nzuuno omuzaana w’Omukama, kikolebwe nga bw’ogambye. Rev. Fr. Joseph Luzindana Archdiocesan Youth Chaplain